Ezekiel 28:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abaali bakumanyi mu mawanga obawuniikirizza; otuuse ku nkomerero eyennyamiza, okomye emirembe gyonna!’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga gonna agaakumanya gaatya nnyo; otuuse ku nkomerero embi, so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo bonna abakumanyi mu mawanga, bakwewuunya, otuuse ku nkomerero embi, era tolibeerawo nate ennaku zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu mawanga gonna abakumanyi balyewuunya ekikutuuseeko, n'obakwasa entiisa, ng'ozikiridde. Toliddamu kubaawo ennaku zonna!’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bonna abakumanyi mu mawanga balikwewuunya: ofuuse entiisa so toobengawo nate ennaku zonna.