Ezekiel 28:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, gamba omukulembeze wa Tiiro nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Mu kwewanika kw'omutima gwo ogamba nti: “Nze ndi Katonda, ntuula mu ntebe ya balubaale mu buziba bw'ennyanja,” sso oli muntu buntu, toli Katonda, newandibadde ng'olowooza nti mu bugezi wenkana Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga olina amalala mu mutima gwo kyova oyogera nti, ‘Ndi katonda, era ntuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Katonda wakati mu nnyanja,’ songa oli muntu buntu, so si katonda, newaakubadde ng’olowooza nga oli mugezi nga katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, gamba omulangira w'e Ttuulo nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,” “Kubanga olina amalala mu mutima gwo, kyova oyogera nti, Ndi katonda, Ntuula ku ntebe ya ba katonda wakati mu nnyanja, Naye oli muntu buntu so si Katonda, newakubadde nga olowooza nga oli mugezi nga Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, tegeeza omufuzi wa Tiiro, Nze Mukama Afugabyonna bye mmugamba nti: ‘Weegulumiza mu mutima gwo n'ogamba nti oli lubaale, era otudde ku ntebe ya lubaale mu nnyanja wakati. Kyokka oli muntu buntu sso si lubaale, newaakubadde ng'olowooza mu mutima gwo nti oli lubaale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, gamba omulangira w’e Ttuulo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga omutima gwo gugulumizibbwa n'oyogera nti Nze katonda, ntudde ku ntebe ya Katonda wakati mu nnyanja: era naye oli muntu buntu so si Katonda, newakubadde nga wasimba omutima gwo ng'omutima gwa Katonda: