Ezekiel 28:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ogambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Nkuli bukiika, Sidoni; nzija kugulumizibwa mu makkati go. Balimanya nti nze Mukama, bwe ndimala okukubonereza, ne njoleka obutuukirivu bwange mu ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Nkulinako ensonga, ggwe Sidoni, era ndyegulumiza mu ggwe. Balimanya nga nze Mukama bwe ndimubonereza, ne neeraga mu ye okuba omutukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, “Laba, ndi mulabe wo, ayi Sidoni, era ndimanyisa ekitiibwa kyange wakati mu ggwe. kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukibonereza, ne ndaga obutuukirivu bwange mu kyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okitegeeze, Nze Mukama Afugabyonna, bye njogera ku kyo, nti nze ndi mulabe wo, ggwe Sidoni, era abantu balintendereza olw'ebyo bye ndikola mu ggwe. Balimanya nga Nze Mukama, bwe ndiraga bwe ndi omutuukirivu, nga mbonereza abo abakubeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, nze ndi mulabe wo, ai Sidoni; era ndigulumizibwa wakati mu ggwe: kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okutuukiririza mu kyo emisango, ne ntukuzibwa mu kyo