Ezekiel 28:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ndimusindikira kawumpuli n'okuyiwa omusaayi mu nguudo ze. Abattiddwa baligwa wakati mu ye olw'ekitala ku njuyi zonna; olwo balimanya nti nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiweereza kawumpuli ku ye, era ndikulukusa omusaayi mu nguudo ze. Abafu baligwa wakati mu ye, ekitala kimulumbe enjuuyi zonna. Olwo balimanya nga nze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ndisindika mu kyo kawumpuli n'omusaayi mu nguudo zaakyo; n'abatiddwa baligwa wakati mu kyo, ekitala nga kikirumba enjuyi zonna; kale balimanya nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndisindika ebirwadde ebibi mu ggwe, era omusaayi gulikulukutira mu nguudo zo. Abantu bo balittibwa ng'olumbiddwa ab'ebitala ku njuyi zonna. Olwo balimanya nga Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ndiweereza mu kyo kawumpuli n'omusaayi mu nguudo zaakyo; n'abaliko ebiwundu baligwa wakati mu kyo, ekitala nga kikirumba enjuyi zonna; kale balimanya nga nze Mukama.