Ezekiel 28:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ennyumba ya Yisirayeli teriddayo kubeera na maggwa gagifumita na malobo gagirumya mu mawanga ag'omuliraano agaabanyoomanga; olwo balimanya nti nze Mukama Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Tewalibaawo nate eri ennyumba ya Isirayiri omweramannyo ogufumita newaakubadde eriggwa eribafumita okuva mu baliraanwa abalina ettima. Era balimanya nga nze Katonda Ayinzabyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale tewalibaawo nate omweramannyo ogufumita eri ennyumba ya Isiraeri newakubadde eriggwa eribafumita okuva mu baliraanwa ab'ettima. Kale balimanya nga nze Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku mawanga gonna ageetooloddewo agaali gajooga ab'Eggwanga lya Yisirayeli, tewaliba na limu liriba nga maggwa agabafumita mmwe wadde agabaagula. Kale balimanya nga nze Mukama Afugabyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale tewalibaawo nate omweramannyo ogufumita eri ennyumba ya Isiraeri newakubadde eriggwa erinakuwaza ku abo bonna ababeetoolodde, abaabagiriranga ekyejo; kale balimanya nga nze Mukama Katonda.