Ezekiel 28:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Bwe ndimala okukuŋŋaanya ennyumba ya Yisirayeli okuva mu mawanga gye baasaasaanira, ndiraga mu bo obutuukirivu bwange mu maaso g'amawanga. Olwo balisula mu nsi yaabwe, gye nawa omuweereza wange Yakobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndikuŋŋaanya abantu ba Isirayiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso g’amawanga, era balituula mu nsi eyaabwe gye nawa omuddu wange Yakobo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndiba nga mmaze okukuŋŋaanya ennyumba ya Isiraeri okubaggya mu mawanga, mwebaasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso g'amawanga, kale balituula mu nsi yaabwe gye nnawa omuddu wange Yakobo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna, agamba nti: “Bwe ndimala okukuŋŋaanya Abayisirayeli ne mbaggya mu mawanga mwe baasaasaanyizibwa, ab'amawanga gonna, baliraba bwe ndi omutuukirivu. Olwo Abayisirayeli balibeera mu nsi yaabwe, gye nawa omuweereza wange Yakobo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Bwe ndiba nga mmaze okukuŋŋaanya ennyumba ya Isiraeri okubaggya mu mawanga, mwe baasaasaanyizibwa, ne ntukuzibwa mu bo mu maaso g'amawanga, kale balituula mu nsi yaabwe gye nnawa omuddu wange Yakobo.