Ezekiel 28:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baligibeeramu mu ddembe, ne bazimba amayumba, ne basimba emizabbibu, ne babeeramu mu ddembe, bwe ndimala okubonereza amawanga gonna agabeetoolodde agaabanyoomanga; olwo balimanya nti nze Mukama Katonda waabwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balituula omwo mirembe, era balizimba amayumba ne basimba n’ennimiro ez’emizabbibu. Bwe ndibonereza baliraanwa baabwe bonna abaabayisa obubi, bo baliba batudde mirembe. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era balituula omwo mirembe; weewaawo, balizimba ennyumba ne basimba ensuku ez'emizabbibu, ne batuula mirembe nga tebaliiko kye batya; bwe ndiba nga mmaze okubonereza baliraanwa baabwe bonna ababakolanga obubi, kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balikkalira mirembe mu yo, ne bazimba amayumba, ne basimba ennimiro z'emizabbibu. Ddala Abayisirayeli baliba mirembe, bwe ndimala okubonereza baliraanwa baabwe ababajooga. Olwo balimanya nga Nze Mukama, Katonda waabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balituula omwo mirembe; weewaawo, balizimba ennyumba ne basimba ensuku ez'emizabbibu, ne batuula mirembe nga tebaliiko kye batya; bwe ndiba nga mmaze okutuukiriza emisango ku abo bonna abaabagirira ekyejo ababeetoolodde; kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.