Ezekiel 28:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nange nno nzija kukuwendulira abagwira abasingira ddala obukambwe mu mawanga; obulungi bw'amagezi go balibusowolerayo ebitala byabwe, ne bafumita ekitiibwa kyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyendiva nkuleetera bannaggwanga ne bakulumba, ab’omu mawanga agasinga obukambwe, ne basowola ebitala byabwe eri obulungi n’amagezi go, ne boonoona okumasamasa kwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kyendiva nkuleetako bannamawanga, ab'entiisa ab'omu mawanga, kale balisowola ebitala byabwe okulwanyisa obulungi obw'amagezi go, era balyonoona okumasamasa kwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ndisindika ab'amawanga agasingayo okuba amakambwe, ne bakulumba mu lutalo, ne bazikiriza ebintu ebirungi bye wafuna olw'amagezi go, ne boonoona ekitiibwa kyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
laba, kyendiva nkuleetako bannaggwanga, ab'entiisa ab'omu mawanga: kale balisowola ebitala byabwe okulwanyisa obulungi obw'amagezi go, era balyonoona okumasamasa kwo.