Ezekiel 28:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balikuserengesa mu bunnya, n'ofa enfa ey'obukambwe mu buziba bw'ennyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balikusuula mu bunnya n’ofiira eyo okufa okubi wakati mu gayanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balikusuula mu bunnya, era olifiira eyo okufa okubi wakati mu nnyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balikutta ne bakussa mu bunnya, era olifa ng'abo abattirwa eyo mu nnyanja wakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balikussa mu bunnya; era olifa ng'abo bwe bafa abattirwa mu mutima gw'ennyanja.