Ezekiel 28:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era oligamba nti: “Ndi Katonda,” awo mu maaso g'abakutta? Nedda, oliba muntu buntu, sso si Katonda, mu mikono gy'abakutta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda,’ mu maaso gaabo abakutta? Oliba muntu buntu so si katonda mu mikono gy’abo abakutta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda’ mu maaso gaabo abakutta? naye oli muntu buntu so si Katonda mu mikono gy'abo abakutta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era olyogerera mu maaso g'abo abakutta nti oli lubaale? Oliba muntu buntu sso si lubaale, mu mikono gy'abo abakufumita.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olyeyongera nate okugambira mu maaso g'oyo akutta nti Nze Katonda? naye oli muntu buntu so si Katonda mu mukono gw'oyo akufumita.