Ezekiel 29:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale nno nkuli bukiika, ggwe n'emigga gyo; n'ensi y'e Misiri ndigifuula ddungu effu, amatongo, okuva e Migudoli okutuuka ku Siyene n'okutuukira ddala ku nsalo za Kuusi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyennaava mbeera n’ensonga eri ggwe n’eri emigga gyo, era ndifuula ensi ey’e Misiri okuba ensiko enjereere ejjudde amatongo okuva ku mulongooti ogw’e Sevene okutuuka ku nsalo ey’e Buwesiyopya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, nze ndi mulabe wo, era ndi mulabe w'emigga gyo, era ndifuula ensi y'e Misiri ensiko enjereere n'amatongo, okuva ku kigo eky'e Sevene okutuuka ku nsalo ey'e Buwesiyopya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ndi mulabe wo, era ndi mulabe wa migga gyo, era ndifuula ensi y'e Misiri ensiko enjereere era amatongo, okuva e Migidooli okutuuka e Siyeene, n'okutuuka ku nsalo ne Etiyopiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, nze ndi mulabe wo, era ndi mulabe w'emigga gyo, era ndifuula ensi y'e Misiri ensiko enjereere n'amatongo, okuva ku kigo eky'e Sevene okutuuka ne ku nsalo ey'e Buwesiyopya.