Ezekiel 29:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi y'e Misiri ndigifuula matongo ng'emenyerwa mu nsi zonna ezaazikirizibwa; n'ebibuga byayo birimala emyaka amakumi ana nga matongo, nga bimenyerwa mu bibuga ebyazikirizibwa. Abamisiri ndibasaasaanya mu mawanga, ndibamansa mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndifuula ensi ey’e Misiri okuba amatongo wakati mu nsi ezaazika, era n’ebibuga byakyo biriba byereere okumala emyaka amakumi ana. Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndifuula ensi y'e Misiri amatongo wakati mu nsi ezaalekebwawo, n'ebibuga byayo mu bibuga ebyalekebwa awo biriba matongo emyaka ana (40). Ndisaasaanyiza Abamisiri mu mawanga ne mbataataaganyiza mu nsi nnyingi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi y'e Misiri ndigifuula amatongo n'okusinga ensi endala zonna ezaali zifuuse amatongo. N'ebibuga byayo birimala emyaka amakumi ana nga bizisiddwa okusinga ebirala byonna ebyali bifuuliddwa amatongo. Abamisiri ndibasaasaanya mu mawanga mangi ku nsi, ne banoonya obubudamo mu nsi nnyingi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndifuula ensi y'e Misiri amatongo wakati mu nsi ezaalekebwawo, n'ebibuga byayo mu bibuga ebizisibwa biriba matongo emyaka amakumi ana: era ndisaasaanyiza Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi.