Ezekiel 29:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Emyaka amakumi ana bwe giriggwaako, ndikuŋŋaanya Abamisiri okuva mu mawanga gye baasaasaanira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naye Mukama Katonda agamba nti; Oluvannyuma lw’emyaka amakumi ana ndikuŋŋaanya Abamisiri okuva mu mawanga gye baasaasaanira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Emyaka ana (40) nga giyiseewo ndikuŋŋaanya Abamisiri okubaggya mu mawanga mwe baasaasaanyizibwa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Emyaka amakumi ana bwe giriyitawo, ndikuŋŋaanya Abamisiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Emyaka amakumi ana nga giyiseewo ndikuŋŋaanya Abamisiri okubaggya mu mawanga mwe baasaasaanyizibwa: