Ezekiel 29:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibaggya mu buwaŋŋanguse ne mbakomyawo mu Paturosi, mu nsi y'obuzaale bwabwe. Eyo gye balibeera ng'obwakabaka obunaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi ey’e Pasulo, ensi eya bajjajjaabwe, era eyo baliba bwakabaka obwajeezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era Abamisiri ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi y'e Pasulo, mu nsi mwe baazaalirwa; era eyo baliba obwakabaka obwajeezebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikomyawo Abamisiri nga bava mu buwaŋŋanguse, ne mbazza mu nsi y'e Paturoosi, ensi mwe baazaalirwa, babeere eyo, nga bafuuse bwakabaka obunafu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndikomyawo obusibe obw'e Misiri, ne mbazza mu nsi ey'e Pasulo, mu nsi mwe baazaalirwa; era baliba eyo obwakabaka obwajeezebwa.