Ezekiel 29:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bwakabaka bwonna obwo bwe bulisembayo obunaku; ndibufuula bunafu nga tebukyaddayo kukajjala ku mawanga malala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bulisinga obwakaba bwonna okujeezebwa, so tebulyegulumiza nate okusinga amawanga amalala. Ndiginafuyiza ddala, era tebalifuga nate amawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bulisinga obwakabaka bwonna okujeezebwa; so tebulyegulumiza nate ku mawanga, era ndibakendeeza, so tebalifuga nate mawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baliba obwakabaka obusingirayo ddala okuba obunafu, obutaliddayo kwekulumbaliza ku mawanga malala. Ndikendeeza omuwendo gwabwe, ne bataddayo kufuga mawanga malala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bulisinga obwakabaka bwonna okujeezebwa; so tebulyegulumiza nate ku mawanga: era ndibakendeeza, so tebalifuga nate mawanga.