Ezekiel 29:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Misiri taliddayo kuwa maanyi nnyumba ya Yisirayeli, wabula alimujjukizanga bujjukiza ebibi bye yakola bwe yamugobereranga; olwo balimanya nti nze Mukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Misiri talyesigibwa nate abantu ba Isirayiri, naye eriba kijjukizo eky’ekibi kubanga baabakyukira nga banoonya okuyambibwa. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Misiri teryesigibwa nate nnyumba ya Isiraeri, naye Isiraeri balyejusa nti baakolanga bubi okudda gyebali okubayamba, kale balimanya nga nze Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggwanga lya Yisirayeli teririddayo kubeesiga kuliwa buyambi. Ebituuse ku Misiri binajjukizanga Yisirayeli nga kyali kikyamu okubeesiganga. Olwo Abayisirayeli balimanya nga Nze Mukama Afugabyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tebuliba nate bwesige bwa nnyumba ya Isiraeri, nga bujjukiza obutali butuukirivu, bwe bakebuka okubatunuulira; kale balimanya nga nze Mukama Katonda.