Ezekiel 29:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni eggye lye yalikuluusanya ng'alitutte okuzinda Tiiro; buli mutwe gwamera ekiwalaata na buli kibegabega kyaggwaako olususu; naye ye n'eggye lye tebaggya mugaso mu mulimu gwe baakola mu kulwanyisa Tiiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yaweereza eggye lye ne lirumba Ttuulo, buli mutwe ne gufuna ekiwalaata ne buli kibegabega ne kimenyebwa, naye ye n’eggye lye ne bataweebwa mpeera olw’okulumba Ttuulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni yaweereza eggye lye okulwanyisa Ttuulo, buli mutwe ne gubaako ekiwalaata, na buli kibegabega ne kibambuka: naye ye n'eggye lye tebaafuna mpeera olw'okulumba Ttuulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, Kabaka Nebukadunezzari owa Babilooniya yasitula eggye lye ery'amaanyi okulwanyisa Tiiro. N'atikka abaserikale be emigugu emizito, buli mutwe ne gukutuka ekiwalaata, na buli kibegabega ne kinuubuka, kyokka ye, wadde abaserikale be, tebalina kye baaganyulwa mu kulumba Tiiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, Nebukadduleeza kabaka we Babulooni yatabaaza eggye lye olutabaalo olunene okulwanyisa Ttuulo: buli mutwe ne gubaako ekiwalaata, na buli kibegabega ne kibambuka: era naye teyalina mpeera, newakubadde eggye lye okuva e Ttuulo, olw'olutabaalo lwe yakitabaala: