Ezekiel 29:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Misiri ŋŋenda kumuwa Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni, obugagga bwamu abutwale; alinyaga obugagga bw'ensi n'agyaya okusasula eggye lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ndimuwa Misiri ne yeetikka obugagga bwe, n’abanyagira ddala era y’eriba empeera ey’eggye lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndiwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni ensi y'e Misiri, alitwalira ddala obugagga bwayo n'abanyagira ddala, ebyo bye biriba empeera ey'eggye lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano Nze Mukama Afugabyonna kino kye ŋŋamba nti Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya, ndimuwa ensi y'e Misiri. Alinyaga nnamunkukumbo w'obugagga, n'atwala omunyago nga ye mpeera y'abaserikale be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndiwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni ensi y'e Misiri; era alitwalira ddala olufulube lw'abantu baayo, n'anyaga omunyago gwamu, n'anyaga omuyiggo gwamu; era ye eriba empeera ey'eggye lye.