Ezekiel 29:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku olwo ndisibusiza ennyumba ya Yisirayeli amaanyi, naawe ndikuggula akamwa mu makkati gaabwe; olwo balimanya nti nze Mukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olwo ndiyimusa ejjembe ery’amaanyi mu nnyumba ya Isirayiri, era ndiyasamya akamwa ko mu bo. Olwo balimanya nga nze Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo ndimeza ejjembe ennyumba ya Isiraeri, era ndiyasamya akamwa ko wakati mu bo, kale balimanya nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekyo bwe kirituukirira, Abayisirayeli ndibafuula ba maanyi, era ndikuleka ggwe Ezeekyeli, n'oyogerera buli muntu w'ayinza okukuwulirira. Olwo balimanya nga Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olwo ndimereza ejjembe ennyumba ya Isiraeri, era ndikuwa okwasama akamwa wakati mu bo; kale balimanya nga nze Mukama.