Ezekiel 29:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yogera ogambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Nkuli bukiika, Faraawo kabaka w'e Misiri, ggwe ssessota omunene eyeebase mu migga gyo; ggwe agamba nti: “Kiyira wange, nze namwekolera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yogera gy’ali nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Nkulinako ensonga, Falaawo, ggwe kabaka w’e Misiri, ggwe ogusota ogunene ogugalamidde wakati mu migga gyagwo, ogwogera nti, “Kiyira wange, era nze nnamwekolera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yogera gy'ali nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,” “Laba, ndi mulabe wo, Falaawo kabaka w'e Misiri, ogusota ogunene ogugalamira wakati mu migga gyagwo, ogwogedde nti, Kiyira wange, era nnamwekolera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yogera omutegeeze, Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nti: ‘Ndi mulabe wo ggwe Kabaka wa Misiri, ggwe gugoonya ogunene, ogugalamira mu ngezi y'amazzi, n'ogamba nti: Omugga Kiyira gwange, era nze nagwekolera!’ “Nga bwe wagamba nti: Omugga Kiyira gugwo era ggwe wagukola,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
yogera ogambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, Falaawo kabaka w’e Misiri, ogusota ogunene ogugalamira wakati mu migga gyagwo, ogwogedde nti Omugga gwange, gwange, era ngwekoledde nzekka.