Ezekiel 29:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kuteeka amalobo mu mba zo, ebyennyanja by'omu migga gyo mbirippe ku magamba go, nkusike nkuggye mu migga gyo, ebyennyanja byo byonna nga byerippye ku magamba go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nditeeka amalobo mu mba zo, era ndireetera n’ebyennyanja eby’omu migga gyo okukwatira ku magamba go. Ndikusikayo mu migga gyo ng’ebyennyanja byonna bikwatidde ku magamba go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nditeeka amalobo mu mba zo, era ndireetera n'ebyennyanja eby'omu migga gyo okukwatira ku magamba go. Era ndikusikayo okuva wakati mu migga gyo, ng'ebyennyanja byonna eby'omu migga gyo bikwatidde ku magamba go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nditeeka amalobo mu mba zo, ne ndeetera ebyennyanja eby'omu mugga gwo okukwatira ku magamba go, ndyoke nkusikeyo mu mugga gwo wamu n'ebyennyanja byonna ebikwatidde ku ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nditeeka amalobo mu mba zo, n'ebyennyanja eby'omu migga gyo ndibikwataganya n'amagamba go; era ndikulinnyisa okukuggya wakati mu migga gyo, wamu n'ebyennyanja byonna eby'omu migga gyo ebikwatagana n'amagamba go.