Ezekiel 29:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo bonna abasula mu Misiri balitegeera nga nze Mukama; kubanga wali muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bonna ababeera mu Misiri balimanya nga nze Mukama Katonda. “ ‘Obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale bonna abali mu Misiri balimanya nga nze Mukama, kubanga obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale abantu bonna abali mu Misiri balimanya nga nze Mukama, kubanga mmwe Abamisiri, Abayisirayeli baabeesiga, naye ne mubabeerera ng'omuggo ogw'olumuli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bonna abali mu Misiri balimanya nga nze Mukama, kubanga baabanga muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isiraeri.