Ezekiel 29:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Nze nzija kukuleetera ekitala, nkuttemu abantu n'ensolo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘ Mukama Katonda kyava ayogera nti: Ndikujjira n’ekitala, n’enzita abantu bo n’ebisolo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndikuleetako ekitala, ne nkumalamu abantu n'ensolo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Nze Mukama Afugabyonna kyenva nkugamba ggwe Misiri, nti ndireeta ab'ebitala ne bakulumba, ne batta mu ggwe abantu n'ensolo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndikuleetako ekitala, ne nkumalamu abantu n'ensolo.