Ezekiel 29:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi y'e Misiri erifuuka ddungu, matongo; olwo balimanya nti nze Mukama. Kubanga wagamba nti: “Kiyira wange; nze namukola,”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi ey’e Misiri erifuuka matongo era ensiko, balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda. “ ‘Kubanga wayogera nti, “Kiyira wange, nze namukola,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ensi y'e Misiri eriba matongo era nsiko; kale balimanya nga nze Mukama: kubanga ayogedde nti Omugga gwange, era nze nnagukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi y'e Misiri erisigala matongo ng'ezise. Olwo balimanya nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensi y'e Misiri eriba matongo era nsiko; kale balimanya nga nze Mukama: kubanga ayogedde nti Omugga gwange, era nze nagukola.