Ezekiel 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, lya ky'olaba; lya, lya omuzingo guno ogende oyogere eri Abayisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya ekiri mu maaso go, lya omuzingo gw’empapula guno; oluvannyuma ogende oyogere eri ennyumba ya Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, lya ekyo ky'olaba, lya omuzingo guno, ogende ogambe ennyumba ya Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, lya ekyo ky'olaba, lya omuzingo gw'ekitabo guno, bw'omala, ogende oyogere n'ab'Eggwanga lya Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, lya ekyo ky'osanga; lya omuzingo guno, ogende ogambe ennyumba ya Isiraeri.