Ezekiel 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, wuliriza bulungi era osse mu mutima ebigambo byange byonna bye nkugamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, wuliriza bulungi era okwate ebigambo byonna bye njogera naawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, ebigambo byange byonna bye ndikubuulira, bikkirize mu mutima gwo, obigondere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, ssaayo omwoyo ku byonna bye ŋŋenda okukutegeeza, era obigondere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate n’aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, ebigambo byange byonna bye ndikubuulira, bikkirize mu mutima gwo, owulire n'amatu go.