Ezekiel 3:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Genda eri abawaŋŋangusibwa, eri abaana b'eggwanga lyo, oyogere gye bali. Bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba,’ ne bwe banaawuliriza ne bwe bataawulirize.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Genda kaakano eri abantu bo, mu buwaŋŋanguse, oyogere nabo. Bagambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda, obanga banaawulira, obanga tebaawulire.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era genda eri abantu b'eggwanga lyo abali mu buwanganguse, oyogere nabo obabuulire nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era genda eri ab'eggwanga lyo abali mu buwaŋŋanguse, oyogere nabo, obabuulire bye njagala okubategeeza, oba nga banaabiwuliriza, oba nga banaagaana okubiwuliriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era genda otuuke eri abo ab'obusibe, eri abaana ab'abantu bo, oyogere nabo obabuulire nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo.