Ezekiel 3:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omwoyo ne gunsitula, ne mpulira emabega wange okukubagana okw'ekitalo - “Ekitiibwa ky'Omukama kitenderezebwe mu kifo kyakyo!”-
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Omwoyo n’ansitula, ne mpulira emabega wange eddoboozi ng’okuwuluguma okunene nga lyogera nti, “Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe mu kifo gy’abeera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwoyo ne gunsitula, ne mpulira emabega wange eddoboozi ery'okuwulukuka okunene nga lyogera nti, “Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe okuva mu kifo kye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mwoyo n'ansitula, era ne mpulira emabega wange eddoboozi ery'omwanguka ennyo, erigamba nti: “Ekitiibwa kya Mukama kitenderezebwe mu ggulu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwoyo ne gunsitula, ne mpulira ennyuma wange eddoboozi ery'okuwulukuka okunene nga lyogera nti Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe okuva mu kifo kye.