Ezekiel 3:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'okuwuuma kw'ebiwaawatiro by'ebiramu ebyali nga bikubagana, n'eddoboozi lya nnamuziga mu mbiriizi zaabyo, okukubagana nga kunene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuwuuma okw’ebiwaawaatiro by’ebiramu nga bikuubagana, n’okuwuuma kwa zinnamuziga ku mabbali gaabyo kwali ng’okuwuluguma okw’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro by'ebiramu nga bikomaganako, n'okuwuuma kwa bannamuziga ku mabbali gaabyo okuwuuma kw'okuwulukuka okunene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne mpulira eddoboozi ly'ebiwaawaatiro by'ebiramu nga bikubaganako, n'okuwuuma kwa zinnamuziga ku mabbali gaabyo, n'okuwuluguma okungi ng'okw'okukankana kw'ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro by'ebiramu nga bikomaganako, n'okuwuuma kwa bannamuziga ku mabbali gaabyo, okuwuuma okuwulukuka okunene.