Ezekiel 3:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nange omwoyo ne gunsitula ne guntwala; ne ŋŋenda nga neekyaye n'omwoyo gwange nga mwennyamivu, kubanga omukono gw'Omukama gwandiko n'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwoyo n’ansitula n’antwala, ne ŋŋendera mu buyinike ne mu busungu, ng’omukono gwa Mukama ogw’amaanyi guli ku nze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwoyo negunsitula ne guntwala: ne ŋŋenda nga ndiko obuyinike n'omwoyo gwange nga gubugumye, omukono gwa Mukama ne guba gwa maanyi ku nze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwoyo n'ansitula n'antwala, ne ŋŋenda nga ndiko obuyinike n'obusungu. Amaanyi ga Mukama ne ganfuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwoyo ne gunsitula ne guntwala: ne ŋŋenda nga ndiko obuyinike n'omwoyo gwange nga gubugumye, omukono gw'a Mukama ne guba gw'amaanyi ku nze.