Ezekiel 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nzija eri abawaŋŋangusibwa abaali e Teli Abibu okumpi n'omugga Kebari, ne ntuula awo mu bo okumala ennaku musanvu naye nga nzenna mpuniikiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ntuuka mu kifo ekimu awaali abawaŋŋanguse e Terabibu ku mugga Kebali, ne ntuula mu bo okumala ennaku musanvu, nga nsamaaliridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ndyoka njija eri ab'obusibe e Terabibu, abaabeera ku mugga Kebali, ne mu kifo mwe baabeera; ne ntuula awo mu bo nga nsamaaliridde ne mmala ennaku musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ndyoka nzija e Telabiibu, ku mabbali g'Omugga Kebari awaali abaatwalibwa mu buwaŋŋanguse, ne mbeera awo mu bo okumala ennaku musanvu, nga nsamaaliridde olw'ebyo bye nalaba ne bye nawulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ndyoka njija eri ab'obusibe e Terabibu, abaabeera ku mugga Kebali, ne mu kifo mwe baabeera; ne ntuula awo mu bo nga nsamaaliridde ne mmala ennaku musanvu.