Ezekiel 3:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, nkutaddewo ng'omukuumi w'ennyumba ya Yisirayeli; wuliriza nno ekigambo kye njogera obalabule ng'okiggya ku nze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi w’ennyumba ya Isirayiri, era buli lw’onoowuliranga ekigambo kye nnaayogeranga, balabulenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti, “Omwana w'omuntu, nkufudde omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri: kale wulira ekigambo eky'omu kamwa kange, obawe okulabula okuva gye ndi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, nkufudde omukuumi w'ab'Eggwamga lya Yisirayeli. Kale wuliranga bye ŋŋamba, obatuuseeko bye mbagamba nga mbalabula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu nkufudde omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri: kale wulira ekigambo eky’omu kamwa kange, obawe okulaba okuva gye ndi.