Ezekiel 3:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ŋŋamba omubi nti: ‘Oli wa kufa,’ naye ggwe n'otomulabula, n'otoyogera kumukomako ave mu makubo ge amabi awonye obulamu bwe, omuntu oyo omubi alifiira mu kibi kye, kyokka omusaayi gwe ndigubanja ggwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ŋŋamba atali mutuukirivu nti, ‘Mazima tolirema kufa,’ n’otamulabula newaakubadde okwogera naye ng’omulabula alekeyo engeri ze ezitali za butuukirivu asobole okuwonya obulamu bwe, omuntu oyo atali mutuukirivu alifa olw’obutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana ggwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe ŋŋamba omubi nti Tolirema kufa; naawe n'otomulabula so toyogera okulabula omubi okuva mu kkubo lye ebbi okuwonya obulamu bwe: omubi oyo alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ŋŋamba omuntu omubi nti: ‘Mazima oli wa kufa,’ naye ggwe n'otomulabula kuva mu bibi bye asobole okuwonya obulamu bwe, talirema kufiira mu bibi bye. Naye okufa kwe, ndikuvunaana ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)