Ezekiel 3:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bw'oba olabudde ku mubi, n'atava mu bugwenyufu bwe oba mu makubo ge amabi, alifiira mu kibi kye, kyokka ggwe oliba owonyezza obulamu bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’olirabula omuntu atali mutuukirivu, n’atalekaayo obutali butuukirivu, newaakubadde engeri ze embi, alifa olw’ekibi kye, naye obulamu bwo bulilokolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye bw'olabula omubi, n'atakyuka okuleka obubi bwe newakubadde okuva mu kkubo lye ebbi, alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye ggwe ng'owonyezza emmeeme yo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bw'olabula omubi, ye n'atakyuka kuleka bibi bye, wadde okuva mu mpisa ze embi, alifiira mu bibi bye, naye ggwe obulamu obubwo oliba obuwonyezza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye bw'olabula omubi, n’atakyuka okuleka obubi bwe newakubadde okuva mu kkubo lye ebbi, alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye ggwe ng'owonyezza emmeeme yo.