Ezekiel 3:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'omutuukirivu bw'alireka obutuukirivu bwe, n'ayonoona, ne nteeka mu maaso ge ekyesittazo, alifa. Kubanga tewamulabula, alifiira mu kibi kye. Eby'obutuukirivu by'aliba akoze, tebirijjukirwa, kyokka omusaayi gwe ndigubanja ggwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ate era bw’alireka ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa. Olw’okubanga tewamulabula, alifa olw’ekibi kye. Ebikolwa eby’obutuukirivu bye yakola tebirijjukirwa, era ndikuvunaana olw’omusaayi gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nate omuntu omutuukirivu bw'akyuka okuleka obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, nange ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa: kubanga tomulabudde, alifiira mu kibi kye, n'ebikolwa bye eby'obutuukirivu bye yakola tebirijjukirwa; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ate omuntu omulungi bw'akyuka n'ava mu bulungi bwe n'akola ebibi, nange ne mmuleka mu kizibu ekyo n'agwa, alifa. Bw'oliba tomulabudde, alifiira mu bibi bye, n'ebikolwa bye ebirungi bye yakola, tebirijjukirwa. Naye okufa kwe, ndikuvunaana ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nate omuntu omutuukirivu bw'akyuka okuleka obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, nange ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa: kubanga tomulabudde, alifiira mu kibi kye, n'ebikolwa bye ebituukirivu bye yakola tebirijjukirwa; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo.