Ezekiel 3:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ggwe bw'oliba olabudde omutuukirivu, omutuukirivu oyo aleme kukola kibi, naye n'atakikola, alirama kubanga yakkiriza okubuulirirwa, naawe oliba owonyezza obulamu bwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka bw’olabulanga omutuukirivu obutayonoona, n’atayonoona, ddala ddala aliba mulamu kubanga yawulira okulabula kwo, era naawe oliba weerokodde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye bw'olabula omuntu omutuukirivu, aleme okukola ekibi n'atakola kibi, mazima aliba mulamu, kubanga alabuse; naawe ng'owonyezza emmeeme yo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bw'olabula omuntu omulungi, aleme kukola kibi, n'alabuka n'atakikola, mazima aliba mulamu, era naawe oliba owonyezza obulamu bwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye bw'olabula omuntu omutuukirivu, omutuukirivu aleme okukola ekibi n'atakola kibi, mazima aliba mulamu, kubanga alabuse; naawe ng'owonyezza emeeme yo.