Ezekiel 3:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nsituka, ne ŋŋenda mu lusenyi; ekitiibwa kya Katonda kyali eyo nga kiyimiridde, ng'ekitiibwa kiri kye nalaba ku mugga Kebari; ne ngwa wansi ku maaso gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nsituka ne ndaga ku ttale. Ekitiibwa kya Mukama kyaliwo, nga kifaanana ekitiibwa kye nalaba ku Mugga Kebali; ne neeyala wansi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ngolokoka ne nfuluma ne ŋŋenda mu lusenyi: kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kiyimiridde eyo, ng'ekitiibwa bwe kyali kye nnalaba ku lubalama lw'omugga Kebali: ne nvuunama amaaso gange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nsituka, ne ŋŋenda mu lusenyi. Ne ndabirayo ekitiibwa kya Mukama, nga bwe nali nkirabidde ku lubalama lw'Omugga Kebari. Ne ngwa ku ttaka nga nneevuunise.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ngolokoka ne nfuluma ne ŋŋenda mu lusenyi kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kiyimiridde eyo, ng'ekitiibwa bwe kyali kye nnalaba ku lubalama lw'omugga Kebali ne nvuunama amaaso gange.