Ezekiel 3:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwoyo n'annyingiramu, n'ansimba ku magulu gange, ne nnyimirira, n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Yingira, weggalire mu nnyumba yo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Omwoyo n’anzikako, n’annyimusa okuva we nnali, n’aŋŋamba nti, “Genda weggalire mu nnyumba yo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwoyo ne guyingira mu nze ne gunnyimiriza ku bigere byange, n'ayogera nange n'aŋŋamba nti, “ Genda weggalire mu nnyumba yo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwoyo n'annyingiramu, n'annyimiriza ku bigere byange, n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Genda weggalire mu nnyumba yo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwoyo ne guyingira mu nze ne gunnyimiriza ku bigere byange, n'ayogera nange n'aŋŋamba nti Genda weggalire mu nnyumba yo.