Ezekiel 3:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olulimi lwo nzija kulukwatiza ku kibuno kyo ofuuke kasiru nga tosobola kubakomako; kubanga abo nnyumba njeemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiziba akamwa ko, n’osirikira ddala, n’olema okubanenya, newaakubadde nga nnyumba njeemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ndyegassa olulimi lwo n'ekibuno kyo, obeere kasiru era oleme okubeera gyebali anenya: kubanga nnyumba njeemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kusannyalaza olulimi lwo, lukwatire ku kibuno kyo, okwogera kukuleme, oleme okulabula abantu abo abajeemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndyegassa olulimi lwo n'ekibuno kyo, obeere kasiru era oleme okubeera gye bali anenya: kubanga nnyumba njeemu.