Ezekiel 3:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ndyogeranga gy'oli, ng'akamwa ko nkaggula ng'obagamba nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba.’ Aliwulira, aliwulira; aligaana okuwulira aligaana, kubanga abo nnyumba njeemu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka bwe ndyogera gy’oli, ndizibula akamwa ko era olibagamba nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.’ Aliwuliriza kale aliwuliriza, n’oyo aligaana okuwuliriza naye muleke agaane okuwuliriza; nnyumba njeemu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe njogera naawe, ndyasamya akamwa ko, naawe olibagamba nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Awulira awulire; n'oyo alekayo alekeyo; kubanga nnyumba njeemu.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe nnaayogera naawe, nja kusumulula olulimi lwo, osobole okwogera, obagambe nti: ‘Mukama, Katonda agamba nti ayagala okuwulira awulire, atayagala kuwulira alekeyo,’ kubanga ab'eggwanga lino, bajeemu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe njogera naawe, ndyasamya akamwa ko, naawe olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Awulira awulire; n'oyo alekayo alekeyo; kubanga nnyumba njeemu.