Ezekiel 3:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, lya omuzingo gwe nkuwa ogujjuze olubuto lwo.” Ne ngulya; mu kamwa kange ne guwoomerera ng'omubisi gw'enjuki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya omuzingo gw’empapula gwe nkuwa, ojjuze olubuto lwo.” Ne ngulya, ne guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, lya ojjuze olubuto lwo omuzingo gwe nkuwa, okkute.” Kale ne ngulya, ne guba mu kamwa kange ng'omubisi gw'enjuki okuwoomerera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aŋŋamba nti: “Gwe omuntu, lya ojjuze olubuto lwo omuzingo gw'ekitabo guno gwe nkuwa, okkute.” Ne ngulya, ne guwoomerera ng'omubisi gw'enjuki mu kamwa kange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti omwana w'omuntu, liisa olubuto wo, ojjuze ebyenda byo omuzingo guno gwe nkuwa. Kale ne ngulya, ne guba mu kamwa kange ng'omubisi gw'enjuki okuwoomerera.