Ezekiel 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Totumibwa eri bantu ab'enjogera enkusike oba ab'olulimi oluzibu, wabula eri ennyumba ya Yisirayeli;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sikutuma eri eggwanga eririna enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera mu njogera, naye eri ennyumba ya Isirayiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga totumiddwa eri eggwanga ery'enjogera gy'otomanyi era ab'olulimi oluzibu, wabula eri ennyumba ya Isiraeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Totumiddwa eri eggwanga erikozesa enjogera gy'otomanyi oba olulimi oluzibu, wabula eri ab'eggwanga lya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga totumiddwa eri eggwanga ery'enjogera gy'otomanyi era ab'olulimi oluzibu, wabula eri ennyumba ya Isiraeri;