Ezekiel 3:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yo ennyumba ya Yisirayeli teyagala kuwulira, kubanga tebaagala kumpulira, kubanga ennyumba ya Yisirayeli yonna ba mutwe mugumu, ba mutima ogugubye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ennyumba ya Isirayiri si beetegefu kukuwuliriza kubanga si beetegefu kumpuliriza; era ennyumba ya Isirayiri yonna balina ekyenyi kikalubo n’emitima mikakanyavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ennyumba ya Isiraeri tebalikuwulira; kubanga tebaagala kuwuliriza nze bye mbagamba: kubanga ennyumba yonna eya Isiraeri bantu ba mputtu, era ba mutima mukakanyavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ab'Eggwanga lya Yisirayeli, tebajja kuwuliriza by'obagamba, kubanga tebaagala kuwuliriza nze bye mbagamba. Ab'Eggwanga lya Yisirayeli lyonna ba mputtu, era bakakanyavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ennyumba ya Isiraeri tebalikuwulira; kubanga tebalimpulira nze: kubanga ennyumba yonna eya Isiraeri ba kyenyi kikalubo era ba mutima mukakanyavu.