Ezekiel 30:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘N'omukono gwa Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni ndikomya ebbiina ly'omu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Ndimalawo ebibinja by’Abamisiri nga nkozesa omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, Ndikomya obugagga bwa Misiri, n'omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndikomya ebyobugagga bwa Misiri nga nkozesa Nebukadunezzari, Kabaka wa Babilooniya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era ndikomya olufulube lw'abantu ba Misiri n'omukono gwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni.