Ezekiel 30:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abantu be, eggwanga erisinga mu gonna obukambwe, bajja kuleetebwa bazikirize ensi. Balisowolera Misiri ebitala, ensi ne bagijjuza abattiddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga, balireetebwa okuzikiriza ensi. Baligyayo ebitala byabwe ne bajjuza ensi ey’e Misiri emirambo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ye n'abantu be awamu naye, ab'entiisa mu mawanga, balireetebwa okuzikiriza ensi; era balisowola ebitala byabwe okulwanyisa Misiri, ne bajjuza ensi abo abattiddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'ab'eggye lye abasingayo mu mawanga okuba abakambwe, balijja ne bazikiriza ensi eyo. Balisowola ebitala byabwe ne balwanyisa Misiri, ne bagijjuza emirambo gy'abattiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ye n'abantu be awamu naye, ab'entiisa ab'omu mawanga, baliyingizibwa okuzikiriza ensi; era balisowola ebitala byabwe okulwanyisa Misiri, ne bajjuza ensi abo abattiddwa.