Ezekiel 30:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emmangamanga za Kiyira ndizifuula nkalu, ensi ne ngitunda mu mikono gy'ababi; ensi nzija kugifuula matongo na buli kigijjuzizza n'omukono gw'abagwira, nze Omukama njogedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikaza emigga gya Kiyira, ne ntunda ensi eri abantu ababi; nga nkozesa bannaggwanga, ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu. Nze Mukama nkyogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikaza Kiyira, ne ntunda ensi mu mukono gw'abantu ababi; era ndizikiriza ensi ne byonna ebirimu, n'omukono gwa bannamawanga. Nze Mukama nkyogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikaza Omugga Kiyira, ne nteeka ensi y'e Misiri mu mikono gy'abantu ababi. Ndireka abagwira boonoone ensi eyo ne byonna ebirimu. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikaza emigga, ne ntunda ensi mu mukono gw'abantu ababi; era ndirekesaawo nsi ne byonna ebirimu n'omukono gwa banaaggwanga: nze Mukama nkyogedde.