Ezekiel 30:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Ebifaananyi bya balubaale nzija kubizikiriza, nzija kukomya ebifaananyi bya balubaale eby'e Memfi, mu Misiri temuliddayo kubaamu mulangira; n'ensi ya Misiri nzija kugibunya entiisa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Ndizikiriza bakatonda baabwe ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu. Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate, era ensi yonna ndigireetako entiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, Ndizikiriza n'ebifaananyi ebisinzibwa, era ndimalamu ebifaananyi ebikole mu Noofu; tewaliba nate mulangira ava mu nsi y'e Misiri, era nditeeka entiisa mu nsi y'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Era ndizikiriza ebifaananyi bya balubaale e Misiri, mbimalewo mu Menfiisi. Tewalisigalawo n'omu alitwala bufuzi mu nsi eyo, era ndigireetamu entiisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era ndizikiriza n'ebifaananyi, era ndimalamu esanamu nu Noofu; so tewaliba nate mulangira ava mu nsi y'e Misiri: era nditeeka entiisa mu nsi y'e Misiri.