Ezekiel 30:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bwange nzija kubumalira ku Sini, empagi luwaga eya Misiri; nzija kutta ebbiina lya No.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini, ekigo kya Misiri eky’amaanyi, era ndimalawo n’ebibinja bya No.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndifuka ekiruyi kyange ku Sini, ekigo kya Misiri eky'amaanyi, era ndimalirawo ddala abantu bonna ab'e Tebesi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndimalira obusungu bwange ku Kibuga Siini, kye kigo kya Misiri eky'okwerindiramu ekisingayo obugumu, era ndimalirawo ddala abantu b'e Tebesi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndifuka ekiruyi kyange ku Sini, ekigo kya Misiri; era ndimalwo olufulube olw'abantu ba No.