Ezekiel 30:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Takupanikesi olunaku luliddugala, lwe ndimenya ebikoligo bya Misiri, okwepanka kw'amaanyi ge lwe kulikoma. Ekire kirimubuutikira, n'ebibuga bye birigenda mu busibe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana, bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri, era n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu. Alibikkibwa n’ebire era n’ebyalo bye biriwambibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era e Tekafunekeesi kiriba kizikiza emisana, bwendimenya ekikoligo kya Misiri, Amanyi ge yeewaana nago galiggwaawo, alibikibwako ekire, n'abantu bakyo balitwalibwa mu busibe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekizikiza kirikwata e Tehafuneheesi bwe ndimenyerayo obuyinza bwa Misiri, ne nkomya amaanyi gaabwe agaali gabeeyagaza. Ekire kiribikka ku Misiri, abantu b'omu bibuga byayo ne batwalibwa nga basibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era e Tekafunekeesi n’omusaaa gulyeggyawo, bwe ndimenyera eyo ebikoligo bya Misiri, n'amalala ag'obuyinza bwayo galigwaawo omwo: nakyo ekire kirikibikkako, ne bawala baakyo baligenda mu busibe.