Ezekiel 30:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, langa ogambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Mukube ebiwoobe nti: “Olunaku olwo zirusanze!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Mwekaabireko mwogere nti, “Zibasanze ku lunaku olwo”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, langirira nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,” “Muwowoggane nti Zisanze olunaku!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu langa oyogere Nze Mukama Afugabyonna bye ŋŋamba. Mukungubage nga mugamba nti: Olunaku olwo zirusanze!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Muwowoggane nti Zisanze olunaku!